Kampala. Akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) akunze abawagizi be okweyiwa ku nguudo okuwakanya kyayise okubba obululu okwakolebwa akakiiko k’ebyokolonda nebalangirira Pulezidenti Museveni ku bukulembeze.
Abagambye bekalakase okwetoloola eggwanga mu mirembe nasaba abakuumaddembe obutatuusa bulabe ku muntu yenna kubanga okwekalakasa ddembe lyabwe elibawebwa ssemateeka.
“Tulina okuwakanya obubbi bwakalulu kaffe. Wadde mu kkooti twajjayo omusango netuguza mu mmwe abantu, tulina obujulizi nti Gen. Museveni twamuwangulira waggulu era abaserikale bebamukubira akalulu mu bitundu ebimu. Twamuwangulira waggulu wadde yabba,” bwe yagambye.
Yabadde mu lukiiko lw’Abannamawulire nagamba nti okubba akalulu kwatandikira ku bikolwa omwaali okukwata bakakuyege be, okugyako yintaneeti, n’okukola effujjo elyabuli ngeri omwaali n’okutta abantu.
Yalalise gavumenti okuyimbula abawagize be bonnan’okukomya okubakata. Yagambye nti okwekalakasa kweyalangiridde tekugenda kubamu ffuujo.
Kyokka ab’ebyokwerinda bamulabudde nti kanagezaako okwekalakasa n’abantu be nga tebalina lukusa kanamujutuuka.
Bobi obwedda ayogera eri abamawulire beyatuzizza e Kamwokya nga ennyonyi z’amaggyezekalisizza mu bbanga okuyita waggulu w’ofiisi za NUP so ng’ate mu kibuga n’awalala abebyokwerinda babadde balawuna.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Discussion about this post