By Musasi Waffe.
Kampala. Akulira ekibiina kya National Unity Party (NUP), Bobi Wine awunikiriza palamenti bwabadde attotola ensonga z’abawagizi be abawambibwa nasaba ekiteeso kiyisibwe okulagira gavumenti okubayimbula.
“Palamenti eragire abantu bafe bonna bayimbulwe n’abafu babatuwe. Nkimanyi nti Gen. Museveni kino akyayinza okukiziimula, kyokka palamenti esseewo essuula nti yayimirira n’abantu. Kyenyamiza nti ebyaliwo emyaka 41 egiyise mu 1980 bizeemu n’okusingawo,” Bobi bwe yagambye.
Yagambye nti abawalaabagizi be abakyala basobezebwako abaserikale ababawamba so ng’ate mu kutulugunya, abasajja babalaawa oba okubajjamu amaaso n’okutyoboola eddembe lyabasibe mu ngeri yonna emenya amateeka omuli n’okubavunanira mu kkooti y’amaggye.
Bobi yategezezza nti gavumenti essusse okumenya amateeka netuuka n’okusiba abantu okusussa mu ssaawa ezikkirizibwa so ng’ate bavunaibwa nga tebalina Bannamateeka wadde okukkirizibwa okulaba Bannamateeka babwe.
Yategezezza palamenti nti omuvubuka Fabian Luuka eyawambibwa oluvanyuma nasulibwa e Nakawa yafiridde e Kiruddu mu ntiisa era azikiibwa Arua olunaku lwenkya.
“Simanyi mikisa gyensigaza okwegerera wano ng’omubaka. Nyinza okudda wano nga Pulezzident,” bweyagambye.
Nga tanagenda mu palamenti, yawandiise ku mukutu gwe ogwa facebook nagamba nti ab’ebyokwerinda bongeza ggiya mu kuwamba abavubuka ba NUP oluvanyuma lw’okulangirira okwekalakasa ng’awakanya okubba akalulu ke.
Ku Mande wiiki eno Bobi Wine yalangiridde okwekalakasa okwemirembe ng’agamba nti Bannyuganda balina okusitukiramu olw’akakiiko k’ebyokulonda okubbira Pulezidenti Museveni akalulu.
“Obujjulizi bwetulina bulaga nti nawangulira ku bitundu 54% kyokka obululu bwange nebukyusibwa abakakiiko k’ebyokulonda nebabuwa Museveni,” Bobi bwe yategezezza.
Ab’eby’okwerinda basitukiddemu nebatandika okukwata abavubuka naddala abalina enviiri ezifanana ez’Abaraasi. KU Lwokusattu ab’ebyokwerinda babadde bakakwata abantu abasoba mu 60.
Mu balala abakwatidwa mulimu bangi ababade bambadde langi emyufu.
“Mu nnaku ssattu eziyise, abe’ebyokwerinda bongeza ggiya okuwamba abantu abamanyiddw nti bawagizi ba NUP okwetoloola eggwanga. Omu kubakwatidwa ye Nhetto ali ennyo ku lusegere Lwanga nga bamuggye ku Acacia Mall,”Bobi bwe yagambye.
Okusinzira ku berabiddeko, Nhetto yakwatiddwa nebateka mu Noah UBE 569R
“Olukalala lw’abantu baffe abakwatibwa lw’ongera okugaziwa buli lunaku,” Bobi bwe yagambye.
Kyokka waliwo okutya okwamanyi olwo’okuba nti abantu bangi ababuzibwawo tebamanyiddwako mayitire. Pulezidenti Museveni bweyabade asisinkanye abebibina wiiki ewedde yategezezza nti eggye elimukuuma(SFC) libalina kyokka ate ba
Omuvubuka Luuka Fabian eyawambibwa abebyokwerinda nebamuyuzayuza omubiri gwonna afiriidde mu ntiisa.
Bobi Wine mu Palamenti Ku Lwokuna gyeyasinzidde okusaba palamenti eragire gavumenti okuyimbula abantu be
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Discussion about this post