Embeera y’obulamu bwa Kabaka Mutebi eyerarikiriza ereesewo ebibuuzo bingi mu bantu ne bateeka akazitto ku Katikkiro Charles Peter Mayiga annyonyole ekigenda mu maaso.
Nga basinzira ku mikutu gimuyunga bantu egimanyiddwa nga sosolo mediya, bamubuzizza lwaki azze akweka embeera y’ebyobulamu bwa Ssabasajja eyalabiseeko eggulo eri obuganda ku mazalibwa ge ag’emyaka 66 mu Lubiri e Mengo ng’alabika mulwadde ddala.
Ebigambo ku bulwadde bwa Kabaka byatandika omwaka oguwedde bwe yagenda e Kenya kyokka Katikkiro nategeeza Obuganda nti Omutanda yali agenze kusisinkana banywanyi be omuli ne Pulezident Uhuru Kenyatta, wadde yalomawo ngasaze weyiti.
Okuvaayo kwa Katikkiro mu kiseera ekyo kwaddirira ebyaali biyitingana nti Kabaka yali mulwadde muyi.
Ate omwezi oguwedde, Kabaka bwatalabiseeko ku mpaka ezakamalirizo ez’emipiira gy’amasaza gyatatera kusubwa,Katikkiro yategezezza nti Kabaka yabadde era azeeyo e Kenya okusisinkana Bamusiga nsimbi.
Kyokka mu katambi akaafulumye ekiro ku Lwokubiri, Kabaka yalabise nga mukoowu ddala era bweyabadde atudde mu ntebe ye, yabadde omukka abaka mubake, ekyareesewo obwerarikirivu.
Kati abamu ku bantu abakozesa sosolo mediya bagala Katikkiro annyonyole ekigenda mu maaso emitima gibakke.
Agatha Kintu yasabye Katikkiro okubeera omwerufu ku nsonga ya Kabaka ababulire ku biriwo.
“Simanyi lwaki Kabaka tatwalibwa mu Amerika. Katikkiro ba mwerufu otubulire,”Kintu bwe yasabye.
K V Mat yangambye nti “Kabaka yasobola wadde okussa?”
Abalala abataddeyo obubaka bwabwe bagala Obwakabaka buveeyo me sitatimenti enambulukufu.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858