Kampala. Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde mu lukiiko n’abakulu b’obusolya nayongera okuttanya ku bulwadde bwa Kabaka nagamba nti abamusaba okutwaala Kabaka ebweru bamutamye.
Agambye nti embeera ya Kabaka Mutebi teyerarikiriza nnyo era buli lunaku Ssabasajja afuna obujjanjabi obw’ekikugu okuva mu basawo ab’enjawulo.
“Allergy si bilogologo (byokka). Allergy kitegeeza obunafu mu mubiri okuziyiza endwadde ezitali zimu oba okuleeta obunafu mu ngeri y’ebitundu by’omubiri era obulwadde busobola okuva ku allergy eyo ne bufuuka bwa bulabe,” Mayiga bwe yagambye.
Nawa ekyokulabilako; “Nina omwana gwemanyi, bwatunula ku nswa, abutuka ne yeyagula nafuna namabwa. Allergy emu eva ku bimuli era abamu ebawa omusujja ne babawa n’ebitanda.”
Nagattako; “Era allergy zino bweziba zilumbye abamu batawanyizibwa mu kussa ng’omukka bwegutuuka mu mawuggwe ofuna obuzibu mu kussa era ndowooza mwalaba.”
Katikkiro yasoose kusisinkana abamu ku batakka gyebuvuddeko nabategeeza nti tajja kutwaala Kabaka bweru kubanga tekyetagisa.
Kabaka bwe yalabika eri Obuganda nga April 13 ku bijjaguzo by’amazalibwa ge age 66 yalabika nga omukka abakamubake.
Olwo nga 16 April, Katikkiro yategezezza Obuganda nti allergy yetawanya Kabaka, abantu abasing kyebawakanya. Katikkiro yategeeza nti allergy ya Kabaka yali evudde ku masiki za covid19.
“Emu ku nsonga enkulu eyandeese wano kwe kubategeeeza nti ensonga z’obulamu bwa nnyinimu zifibwaako bulungi ddala era abasawo abakungu bazilondoola buli lunaku. Mpulidde amaloboozi mangi nti lwaki Kabaka tatwalibwa bweru, ndowooza nammwe gabamazeeko emirembe,” Mayiga bwe yagambye.
Abamu ku bataka mu lukiiko ne Katikkiro mu Lubiri e Mengo
Yagambye nti abasawo bwe bategeera ekiluma omuntu nga n’eddagala balirina, tewali kyetagiisa kugenda bweru kubanga okugenda ebweru si musono.
Nasaba bajjajja bakubirize Abazzukuku babeere bakkakkamu nti Kabaka abantu bangi omuli Abalangira N’abambejja ababeera naye era nga bano balondoola obulamu bwe.
Yagambye nti nga May 29 Kabaka ajja kuggulawo olukungana lw’Abaganda ababeera e Canada me America abegattira mu Buganda bumu mu nkola ya zoom olwo ate ye Katikkiro anaggalawo olukiiko olw’o
Ate nga July 31 Kabaka anaweza emyaka 28 ku Nnamulondo era wakulujaguliza mu Lubiri lwe e Nkoni, Masaka.
Ye Omutaka Nnamwama Augustine Mutumba yasiimye Katikkiro olw’ensisinkano eno nagamba nti ebawadde essanyu okumanya ebituufu ebifa ku Magulunnyondo nga biva buteerevu mu kamwa ka Katikkiro Mayiga.
Nnamwama Mutumba asabye Obwakabaka okuteekawo enteekateeka okusomesa abaana n’abazzukulu mu b’abataka basobole okuganyula Obwakabaka, kuba okuva ne ku mirembe gy ‘abazungu, bano bammibwa omukisa okubangulwa wadde ng’abaana b’abaami baagufuna.
Abamu ku bataka mu lukiiko ne Katikkiro.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858