Gen Katumba Wamala asinzidde ku kitanda ku Madipal hospital e Kololo nayogera ku kwegezaamu okumutemula enkya ya leero.
Mu butemu buno mwafiriddemu muwala we Brenda Nantongo abadde yakamaliriza emisomo gye mu Amerika.
“Nze ebiwundu bye nina tebyerarikiriza nnyo. Nja kuterera mu beere bagumu. Kyokka muwala wange ye bamusse awatabadde musango gwonna gwe bamuvunana,” Katumba bwe yagambye.
Nakubiriza bonna abanasoboka okubaawo mu kuziika Nantongo. Ekifo n’olunaku tebinamanyibwa.
Katumba yategezezza nti wadde ebyo bibaddewo akyaali mugumu.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858