WAKISO-UGANDA/ NEWSDAY: Abaganda n’emikwano gyabwe abegattira mu kibiina kya Buganda Forum kye baakolera ku mutimbagano gwa WhatsApp baddukiridde abawejjere mu disitulikiti ye Wakiso n’obuyambi bw’emmere wammu ebintu ebyeyambisibwa mu maka.
Abaganyuddwa mu kawefube ono eyagendereddwa okujjuna abali obubi mu biseera bino eby’omuggalo baasangiddwa mu bitundu bye Kyaddondo – Kibuga, mu muluka gwe Kasubi ne mu Kyaddondo – Wakiso omuli Kiwalimu, Buwaate.
Omulimu guno gwakulembeddwa Bannakibiina era abakiise ba Buganda Forum abali mu bitundu ebyo. E Kyaddondo- Kibuga Kansala Nansubuga Margret ate Wakiso Eric Ssekiranda Munna Nkobazambogo era ow’abavubuka.
Okusinzira ku eyali Omukiise mu Lukiiko lwa Buganda era omukwanaganya w’omukuttu, Sylivia Kirabira, emmere yaweereddwayo ba Memba okuli Omuttaka Kigoye owe Endejje-Bombo wamu nakulira essomero lya Monde Ssekanyonyi, Muwanga David ate olw’o Bannakibiina ne basasulira entambula.
Amaka agakunnukiriza mu Kikumi gaganyuddwa mu nteekateeka eno.
“Twawaddeyo emmere enkalu nga Lumonde, muwogo ate n’ebintu nga sukaali omuccere sabbuni n’ebirala ebikozesebwa mu bulamu bwa bulijjo.Twagala okulaba nga enteekateeka enno ebuna mu masazza 18 agakola Buganda,” Kirabira bwe yagambye.
Emmere eyagabiddwa nga etwalibwa.
Ebintu babikunganyiza nga bayita ku mukutu gwabwe ogwa What’s up era wano Kirabira weyasabidde buli abalina emikutu Gino okugikozesa mu mbeera etumbula obulamu bwabwe ne Bannayuganda okutwaliza awamu.
Emmere eyagabiddwa aba Buganda Forum
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858