Monday, August 8, 2022
NEWSDAY
  • News
  • Politics
  • Lifestyle
  • World
  • In pictures
  • Luganda
  • In History
  • Sports
  • Perspective
  • Business
No Result
View All Result
  • News
  • Politics
  • Lifestyle
  • World
  • In pictures
  • Luganda
  • In History
  • Sports
  • Perspective
  • Business
No Result
View All Result
NEWSDAY
No Result
View All Result
Home In Luganda

Kkooti eganyi owa NUP okujjulira nenyweza obuwanguzi bwowa NRM

Kkooti egobye okusaba kwokujulirakwe ng’omulamuzi agamba nti tekulina makulu namulagira okuliyirira Wassajja Eddie Ggulu owa NRM ssente zonna zaasasanyizza.

by www.newsday.co.ug
November 20, 2021
in In Luganda, News
124 1
Kkooti eganyi owa NUP okujjulira nenyweza obuwanguzi bwowa NRM

Wasajja Ggulu ( mu suuti wakati) n'abamu ku bawagizibe ku kkooti

3.1k
VIEWS

Bya Mwanje Mutesasira

KAMPALA-UGANDA/NEWSDAY: Kkooti  ekomeredde omusumaali ogusembayo mu sanduuke yowa NUP e Lubaga abadde alwana okulemesa owa   NRM yamuwangudde mu kkooti kyokka najulira.

Egobye okusaba kwokujulirakwe ng’omulamuzi agamba nti tekulina makulu namulagira okuliyirira Wassajja Eddie Ggulu owa NRM ssente zonna zaasasanyizza.

Ggulu kkooti yamulangiridde ku buwanguzi bwa kansala akirira omuluka gw e Kawaala ku divizoni e Lubaga oluvanyuma lwokuwuliriza obujulizi obulaga nti Munna NUP Henry Kalyango obuwanguuzi yanyakula bunyakule ku Ggulu.

Related articles

Wasajja Eddie Ggulu

Court nullifies NUP councilor in Lubaga, declares NRM’s Ggulu

October 26, 2021

Akakiiko kebyokulonda kaalangirira Kalyango mu kulonda okuwedde wabula kyakolebwa mu nsobi kubanga obumu ku bululu bwa Ggulu ku ssomero Lya update p/s bwalekebwa ebbali.

Wabula Kalyango y’abadde ajulidde kyokka kkooti negoba okujulirwakwe.

Eno yentikko yolutalo lwa NUP ne NRM mu Lubaga eyokusatu nga zonna omulangira Wassajja Eddie Ggulu aziwuuta buva.

Kyokka Wasajja yategeezezza nga yakawangula ogwokusatu nti ayagala akakiiko kebyokulonda kamugazetinge mu bwangu ate alayizibwe mbagirawo.

“Nawangula dda era simanyi lwaki ebyokunteeka mu kyapa kya Gavumenti nokundayiza byekunya nga bainga abalina kye babala. Ekirungi kkooti eyongedde okulaga amazima Kati njagala bandayize” Wasajja bwe yagambye.

Bino byonna okubaawo ngokunaganya nembuutu bigenda mu maaso ku kkooti e mengo ne Kawaala.

Wassajja ngayita mu looyawe Muzamiru Mujulizi yalumiriza nti waaliwo okusazaamu obumu ku bululu bwe oba okubukyusakyusa naddala ku kifo kya Up To Date P/S e Kawaala ekyayamba Kalyango nakakiiko k’eby’okulonda okulangirira Kalyango wadde ng’omugatte omutuufu gulaga nti Wassajja Eddie Ggulu yeeyawangula era yasaba kkooti emulangirire ku buwanguuzi omulamuzi ow’eddaala erisooka Nansambu Esther Rebecca kyeyakiriza.

 


Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Share163Tweet102SendShare
Next Post

Businessman accused of publishing deputy speaker’s corruption dossier released on bail

Discussion about this post

  • Advert: Making money right at your fingertips with baydle company

    798 shares
    Share 319 Tweet 200
  • Exclusive: Last video of socialite couple before train crash death

    476 shares
    Share 190 Tweet 119
  • Video: Mao survives mob in Kampala after Museveni deal? No, this video was taken at Balintuma road 3yrs ago

    459 shares
    Share 184 Tweet 115
  • Exclusive: Last video of Policeman, family moments before car crash death.

    455 shares
    Share 182 Tweet 114
  • Ggoobi sacks 110 accounting officers

    536 shares
    Share 214 Tweet 134
NEWSDAY

Your source of the most critical on spot breaking news from www.newsday.co.ug. Newsday Uganda is recognized by audiences around the world as a trusted supplier of news.

newsdayuganda@gmail.com
+256 726 054 858

Categories

  • Business
  • Entertainment
  • In History
  • In Luganda
  • in pictures
  • Lifestyle
  • News
  • Perspective
  • Politics
  • Sport
  • World

Recent Posts

  • Kenya Elections: Raila’s last plea for presidency
  • SUDHIR RUPERELLIA: How his determination to destroy nature overpowered his love for it

© 2021 NEWSDAY.

No Result
View All Result
  • News
  • Politics
  • Lifestyle
  • World
  • In pictures
  • Luganda
  • In History
  • Sports
  • Perspective
  • Business

© 2021 NEWSDAY.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In
Posting....