KAMPALA-UGANDA/NEWSDAY:OMULABIRIZI w’e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira asabye ebitongole ebikuuma ddembe okukendeeza eryanyi byeriteeka kubannamawulire ekiretedde abamu okufuna ebisago eby’amaanyi.
Luwalira yagambye nti kimanyiddwa nti nga waliwo embeera eyakazigizigi, ebitongole ebikuuma ddembe byebitunulirwa okutaasa embeera naye ate bwebiba nga bye bilityobola, awo wabaawo okusomozebwa.
Okwogera bino, Luwalira yasinzidde mu Lutikko e Namirembe ku Mmande mukusaba kwa bannamawulire abakristaayo ng’ebimu ku bikujjuko by’okujjukira olunaku lwa bannamawulire.
Luwalira era yennyamidde olw’embeera bannamawulire gyebakoleramu omuli ababalinnya akagere olwebyo bye baba babawandiseeko mu mawulire ng’oluusi byanika bye bakola.
Yategezezza nga bo bannaddiini bwebavumirira ebikolwa by’effujjo ebikolebwa kubantu ab’enjawulo era nasaba Gavumenti ate obutabakolako lutalo nga baliko bye boogedekko ebitagenda bulungi.
Yebazizza nnyo bannamawulire olw’okumanyisa eggwanga ebifa munsi era nabasaba nga bakola emirimu gyabwe, bakulembeze Katonda ssaako okwetukuza mubifo eby’enjawulo gyebaba bagenze okukola.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta bannamawulire mu ggwanga ekya Uganda Journalists Association (UJA) Mathias Rukundo, yategezezza omulabirizi nga bannamawulire bwe bagezezaako okwekuba ku Gavumenti naye byonna nebirema.
Yagambye nti amasiga asatu aga Gavumenti okuli ofiisi ya Pulezidenti, paalamenti n’ekitongole ekiramuzi yonna batuseeyo nebannyonnyola ku kutulugunyizibwa naye nga tewali kikoleddwa.
“Tusazeewo naffe okuddukira mu kkanisa, mwe bannaddiini mutuyambe okubunyisa enjiri evumirira okutulugunya kuba mu Gavumenti tewali wetutuutse wabula nga tewali kikolebwa.” Rukundo bweyayongeddeko.
Yategezezza nga bwebagenda okutegeka emikolo egy’enjawulo bannaddiini okuva munzikiriza ez’enjawulo babateeke kumwanjo bongere okusabira bannamawulire n’okuvumirira ebikolwa ebikyamu ebibakolwako.
Ye ssentebe w’ekibiina kya bannamawulire abakristaayo ekya Church of Uganda Media Association (CHOUMA) Zambaali Bulasio Mukasa yalaze okusomoozebwa kwebalina omuli obutaba na ofiisi zakibiina.
Yagambye nti betaaga okuba ne ofiisi ku kitebe ky’obwassabalabirizi ssaako nnemubulabirizi 37 okwongera okumanyisa abantu ebikolebwa nga bayita mu mawulire.
Zambaali era yasabye ekkanisa ya Uganda okuwagira ku bannamawulire n’ensimbi eri abo abaagala okusoma obuwereza mu kkanisa oba okwongera kumisomo gyabwe.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Discussion about this post