Bya Mwanje Muteesasira
KAMPALA-UGANDA/NEWSDAY; Aboluganda lw’omusumba Jackson Ssenyonga akulira ekkanisa ya christian Life Church Bwaise balajana ku mbeera embi gyebayitamu.
Kino kidiridde ebizibu eby’okumukumu omuli ssenga wabwe Keeti Kitta eyakuzza omusumba Ssenyonga ng’akyali bbuje eryemyaka 4 okulwala naseegera mu kayumba e Kanaaba nga kigambibwa nti waliwo emizimu egimulumba kyokka Ssenyonga natafaayo.
Okulajana okwokubiri, ye enyumba ku kiggya kyabwe okuyiikako ekitundu emanju era omusumba natabifaako.
Kuno bagaseeko obwavu obubeliisa enkuta era nga kati mukulu wa Ssenyonga ayitibwa Ssenyonga Fredrick, 60 aka Noah Katabalwa okutandika okuvuga akagaali ka bodaboda mu Kampala.
Wabulaekyennaku, ebyobugagga aba ffamire bye bandikozesezza okwetereeza okuli ettaka, Ssenyonga yalina ebyapa byabyo.
FFAMIRE EYOGEDDE
Omu ku basika bamuganda wa paasita Ssenyonga ayitibwa Ssalongo Kityo Paul Katetemera yategeezezza nti bali mu kusoberwa kwamaanyi nga ffamire kubanga kitaabwe omuto omusumba Ssenyonga abalemesezza ensi.
” Nze nasikira ettaka lya kitange eryamuwebwa jjajja azaala kitaabwe wa Ssenyonga nga nina emya 13 kati nnange ndi Ssalongo ku myaka 40 kyokka ekyapa ekiri mu manya ga kitange nga nemmange namwandu wa kitange yali mu ttaka eryo e Kayabee Ssenyonga yakiwamba nti nkyali muto.
Mukiseera kino ettaka libibwa, abamassalaze n’emilongooti baagala tubaweeko liizi kyokka Ssenyonga ekyapa akiremedde era ennaku ezo looya waffe yamuwandikira wabula agugubye
Maaama, situmanyi kyatwagaza” Kityo bwatyo bwe yategeezezza eggulo.
Muganda wa Kityo omulala Jonathan Kyeyune naye eyasikira kitaawe wa Ssenyonga, omugenzi ng’ono yeeyali atwala ettaka lye Kituntu mu Butambala eriwezaako yiika 30 nomusobyo era ewali ekiggya kya ffamire yabwe naye gakaaba gakomba kubanga era naye ekyapa kyawo era Ssenyonga yoomu yakiwamba.
Mu kiseera kino enyumba Ssenyonga mwebaamuzaalira eri kunjegoyeego zakuggwa era namutikwa wenkuba eyatonye ennaku ezo yagisinduddeko ekisenge emanju nolubalaza.
Aba ffamire abenjawulo bagamba nti basobeddwa kubanga Ssenyonga ali Kololo nakulaga ssente mu Balokole kyokka gyasibuka nabaffamire bayagga.
Ekiri ewa ssenga eyakuza Ssenyonga kyenyamiza
Ye ssenga Keeti Kitta 81, ng’ono yeeyakuza Ssenyonga oluvanyuma lwa nnyina omugenzi Ritah Nakalema 72 naye eyafiiridde e Lwengo gye buvuddeko nga yeezinze era ngatambula ayavula naye taliiko agamba era naye Kati ayavula nga mwana muto.
Ono abeera mu kayumba e Kanaaba nomwana wa mwanyina kyokka olwobuzibu amusibira ku lubalaza ye nagenda okuyiiya ngatya nti ayinza okumuleka mu nju ababbi ne babanula kubanga mukazi wattu takyeyinza.
Omusasi waffe eyatuukiriddwa omu ku boluganda n’amutwala ku kayumba ssenga wa Ssenyonga wasula yategeezezza nti awulira enaku okulaba nga ssenga wabwe ono abonabona so nga ye yakuza Ssenyonga era n’amuyigiriza okweyimirizaawo nti naye embeera gyalimu mbi nnyo.
Kityo mu kiseera kino avuga kipipipiki ekikadde mu bitundu bye Katwe.
Keeti Kitta Ono yeeyalina ebyapa ngettaka okuli Kityo ne munne lye baasikira kyokka mu 2006 Ssenyonga nakozesa olukwesikwesi nabimusaba nti abitereke era yabimutwalira ne ssaalongo Kityo wabula yabiremera.
Omusasi Ono weyatuukidde Keeti wasula yamusanze atudde ku muggalo ku lubalaza .
Alina ekimbe ekyamutema amaggulu nomugongo nga bwe gwali ku nnyina wa Ssenyonga era ayavula bwavuzi.
Balirwana bagambye nti nabo batya olwembeera yomukadde Ono asiiba ku muggalo nti ate oluusi waliwo lwagwira ekintu waya ne zibanga ezivuddeko nayavula mu nguudo nokwogera ebitakwatagana.
” Twasaba dda abalokole bamusabire b’omusumba Ssenyonga eyamukuza tafaayo , ensi nzibu” mulirwana omulakau bwe yagaseeko.
Ate waliwo omulala eyayongeddeko nti aba ffamile abalala bamunyigira olwokuwa Ssenyonga ebyapa nga tasoose kubeebuuzaako.
Mukulu wa Ssenyonga avuga kagaali ka bodaboda
Ku myaka 60 n’omusobyo musajjamukulu Ssenyonga Fredrick, 60 aka Noah Katabalwa yasalawo kuvuga kagaali maanyi ga kifuba mu Kisenyi okusobola okufuna kyalya oluvannyuma lwokwewuuba ku mutoowe Ssenyonga amuwe entandikwa nagaana.
‘Newuuba ku ofiisi za mutowange kubanga yekenyini yeeyampita kyokka ne siyambibwa kwe kudda ku kagaali kano koolaba” Ono bwe yategeezezza.
Yagambye nti amaze emyaka mingi nga Ssenyonga Kati amuwulira ku leediyo na ttivi zokumuliraano ku kazigo kapangisa e Lusaze ngayamba abalala wadde ye yagaana okumukwata ku mukono.
Ono yagambye nti ensi yabagoya nyo ne Ssenyonga e Katwe mu Juuko zooni gye baakulira.
Ssenyonga oluvanyuma yeegatta ku Balokole ba Balabyekubo e Kibuye, Balabyekubo bwe yafa Ssenyonga kwekutwala enjiri yomugenzi e Bwaise mu maaso.
Nti naye oluvanyuma waliwo Omuzungu eyamuteeka e Russia nasoma kompyuta kyokka bwe yakomawo kuno nabulwa emirimu Ssenyonga kwe kumuyita ebiseera ebyo e Bwaise nti wabula yeewuubayo nakoowa kwekwekyawa nafuna akagaali kwasombera abantu nebifuluusi era muwuulu talina ssente zaakuliisa bakazi.
SSENYONGA KYAGAMBA
Kyokka omusumba Ssenyonga yategeezezza abamawulire ennaku nti Kituufu ebyapa bya ffamire yabirina kyokka bwe baliyita mu makubo amatuufu ajja kubibawa.
Yagambye nti bbo batandise kukozesa bannamateeka mukifo kyensonga okuzizza mu ffamire nagamba nti abalala baagala abawe ebyapa batandike okutunda ekitali kituufu. Ku ssengawe n’abaffamire abali obubi tetwamufunye kubaako kyatangaaza
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Discussion about this post