KARUMA. Omusuubuzi alumirizza omukazi okumuyingirira mu ddiiru ye ey’okutunda ebyuma ku daamu ya Karuma.
Omunene ono, omu ku bagagga, Haji Farooq Nsubuga alumiriza Christine Mbabazi okwagala okumusuuza ddiiru gye yakutula n’Abachina e Karuma.
Nsubuga agamba nti yafuna kontulakiti eri Abachina era natekayo kkampuni ye eya NFK investments nga kati yeri mukukola kukutunda ebyuma n’ebimotoka ebikadde.
Nsubuga agamba nti Mbabazi yamutukirira nga ayagala kumuguza byuma kyokka nti bwe yamutwala e Karuma, yayagala okumuyita ebbali amusuuze ddiiru ekintu Nsubuga kyagamba nti yakitegeera kuva ku Bachina.
Kyokka Mbabazi ye agamba nti Nsubuga yamugyako obukadde 2 nga amusuubizza okumuguza ebyuma. Kyokka Nsubuga agamba nti Mbabazi byayogera tebikwatagana era nagamba nti ayagala amuwe obukakafu oba yaziwereza ye.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us on info@newsday.co.ug or ,Tel/WhatsApp........0702451828
Discussion about this post