KAMPALA-UGANDA/NEWSDAY: ABASERIKALE ba KCCA bakubye bubi nnyo abasuubuzi be basanze nga bakolera ku ma kkubo mu bitundu bye Kisaasi.
Abamu ku basuubuzi bano babakubye ne bafuna emisago eby’amannyi okuli n’abavuddemu amannyo.
Bino byabaddewo mu kiro ekyakeeseza olwokubiri mu kitundu kye Kisasi we Bayita ku Ndundu. Abaserikale ba KCCA bano ababadde bawerekerwako poliisi n’amagye abasuubuzi bano babazinze ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro nga bakute embukuuli z’emiggo.
Mu bakubiddwa obubi ennyo kuliko mzee Moses Ssendaula EYAKUBIDDWA obubi mu kifuba, Muhammad Karuuma ne Deus Kurumira. Ate ye Samuel Mwesigwa ono yakubiddwa eriiso erya kkono, saako n’amannyoge aga wansi okuba nga gakoseddwa ebitagambika.
Mwesigwa eyasangiddwa mu ddwaliro erimu e Nakawa ng’afuna onujanjabi yagambye nti okukubibwa yabadde agenze kwegulira bya kulya kyokka n’asanga nga waliwoomuvubuka gw’amannyi abaserikale gwe babadde bakuba bwe yagezezaako okumutaasa naye kwe kumutwaliramu. Yagambye nti abaserikale abamukubye babadde baserikale ba KCCA.
Mwesigwa yagambye nti bwe bamaze okubakuba ne batuuka ku kabangali yabwe ne babatwala ku poliisi ye Kira gye basuze.
Kyategeerekese nti oluvanyuma lw’atwala poliisi eno okulaba embeera embi abasibe bano gye babaddemu, yalagidde mu bwangu ne bateebwa ku kakalu ka poliisi bagende bafune obujanjabi.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us on info@newsday.co.ug or ,Tel/WhatsApp........0702451828
Discussion about this post