Abaganda ababeera mu kibuga London ekya Bungereza, bewaddeyo okupangisa ennyonyi etwaale Kabaka Mutebi (mu kifanaanyi) afune obujanjabi obw’ekikugu.
Era basubiza okusasula ensimbi zonna ezinakozesebwa mu bujanjabi bw’omutanda.
Obubaka bwabwe babuyisizza mu bbaluwa gye bawandikidde Katikkiro Charles Peter Mayiga nga April 16, 2021. Begatidde mu kibiina ekyekiseera “Forum For Baganda Subjects, Ugandans and Friends of Buganda and Uganda’.
“Tunyolerwa wamu naawe,n’ olulyo olulangira, Obuganda ne Uganda yonna okutwalira awamu. Kabaka tumutadde mu ssaala nga tusaba Omutonzi omussuuse mangu era amuwonyeze ddal. Tukutegeeza nti twekolamu ekibiina okwanukula Ggwanga Mujje ewulikise mu Buganda n’ekigendererwa, Ssabasajja, eky’okutaasa obulamu bw’Omutanda, bwe kiba nga kisobose,” Mw. Stephen Lwetutte omukubiriza wabwe bwe yagambye mu baluwa ye.
Kyokka mu nsisinkano n’Abattaka, ku offisi ze ku Bulange e Mengo ku Lwokusattu, Mayiga teyakilumyemu kutegeza nti talina ntegeka yonna yakutwaala bweru okufuna obujanjabi.
Baategezezza Katikkiro nti ne Ssabasajja bamuwandikidde butereevu era ne bamuwaako kopo y’ebbaluwa gye bawandiikidde Kabaka.
“N’olwensonga eyo, tukusaba okkirize okwasaganyize wamu naffe enteekateeka zino ez’okukyuusiza Ssabasajja obujjanjabi buzzibwe mu ggwanga erya Bungereza,” ebbaluwa bwesoma.
Nebakkakkasa Kkamalabyonna nti bbo betegefu okusasulira enteekateeka ez’okumupangisiza ennyonyi n’obujjanjabi bwonna obuneetagisa kino okukolebwa amangu ddala nga bwe kisoboka wabula ne basaba abasobola okubakwatizako bakolere wammu.
Embeera ya Kabaka okumala kati ennaku kkumi, eyogeza abantu obwaama olwo oluvanyuma lw’okulabika nga mulwadde ku mbaga y’amazalibwa ge nga April 13 mu Lubiri e Mengo.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858