Embeera y’Omubaka omulonde owa Kawempe North Mohammed Ssegirinya yewanisizza Bannayugamda emitima bwategezezza nti ekibumba kye kitandise okuvunda.
Ajjabirwa mu ddwaliro lya Nairobi Hospital era nga eno gyeyasinzidde okuwereza akatambi akewanisizza abawagizi be emitima.
“Ndiwano obulwadde bumbala embirizi ng’Abasawo bangambye nti ekibumba kiriko ebiwundu. Nandyetaaga okukyusibwa ekibumba,” Ssegirinya bwe yagambye.
Nagattako nti baamutegezezza nti ekibumba ekilwadde kyekivuddeko feesi ye okwefumba neddugala.
Yatwalibwa mu ddwaliro e Nairobi ku Ssande abasawo abamusokaako aba Doctors Clinic hospital e Seguku okumulemererwa.
Ssegirinya yasooka okuba n’obuzibu bw’okuvaamu amasira mu mattu n’okuddukana omusaayi amangu ddala nga yakayimbulwa okuva mu kkomera e Kitalya ku Lwokutaano nga April 16.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858