Kampala. Katikkiro Charles Pater Mayiga agambye nti Gavumenti ya Pulezidenti Museveni egenda okulayizibwa ku ku Lwokusattu e Kololo esanidde esosowaze ensonga za Buganda.
Mulimu ebintu bya Buganda ebitannatuddizibwa, ate n’essente ezisoba mu buwumbi 200 ezibanjibwa.
“Federo nayo tukyagibanja,” Katikkiro bwe yategezezza.
Katikkiro yasabye Abavubuka ba National Unity Platform abakulirwa Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine abaasibibwa mu biseera eby’okunoonya akalulu bayimbulwe.
“Ebbanga kati lyetoloodde bukya abavubuka bano bakwatibwa era ne baggalirwa. Abantu bano balina abantu baabwe (abakyala n’abaana) be baali balabirira ate ne bakadde baabwe. Tusaba gavumenti etwale abantu bano mu kkooti bafune obwenkanya. Tusaba gavumenti yeekube mu kifuba ebasumulule. Okukuumira abantu mu makomera kireeta obunkenke – ate eggwanga liba lifiirwa,” Katikkiro bwe yasabye.
Mu bano mulimu Eddie Mutwe, Nubia Li nabalala.
Yagambye okulwanyisa obwavu n’ebbula ly’emirimu naddala mu bavubuka; Obuli bw’enguzi n’Okutereeza ensonga omukaaga ezivaako obuvuyo bw’ettaka; Obumenyi bw’amateeka n’ettemu bikomezebwe mu kisanja ekippya.
“Tusaba ensonga ezaaleeta gavumenti eno nga: eddembe ly’obuntu, obukulembeze obutambulira mu mateeka binywezebwe mu kisanja kino,” Mayiga bwe yagambye.
Yabadde ayogererera mu lukiiko lwa Buganda ku Bulange e Mengo ku Mmande nagamba nti bonna abakulembeze abaalondebwa basoosoowaze ensonga ezikwata ku muntu wa bulijjo omuli eby’obulamu, Ebyenjigiriza – Okutumbula ebyobulimi n’obusuubuzi.
Abakiise obwedda bakubira Katikkiro enduulu ey’olulekereke nga bamusuuta okukira abalala mu buwereza bwe obutenkanika eri Obuganda era bayimiridde okumala eddakiika emu okwebaza (standindg ovation) emirimu gye.
Bamutendereza olw’obuvumu n’okukola nga teyebaririra wakati mu bamuwakanya entakera.
Yakubiriza abantu okwegemesa Ssennyiga Kolona gwe yagambye bulwadde bwabulabe nnyo.
“Mulaba kyebukola abantu mu Buyindi. Temugayaala bassebo ne bannyabo. Mugende babageme. Mwambale obukookolo, munaabe mu ngalo ate n’obulagala obutta akawuka oko temubusuula muguluka mmwe abasobola okubugula” Katikkiro bwe yagambye.
Yasabye ab’eby’okwerinda okukwasisa Abavubi amateeka mu ngeri ennungamu, nga teriimu kutyoboola ddembe ly’abantu oba okwonoona ebintu.
“Abavubi ku Nnyanja Emirundi mingi bwe nkyalira abantu abaliraanye ennyanja, bambuulira ebizibu eby’abavubi ku nnyanja. Abavubi awamu n’abo abeesigamye ku mirimu egikolebwa ku nnyanja bakaabye nnyo mu kiseera kino,” Katikkiro bwe yagambye.
Yalomboze eby’enkulakulana mu bwa Kabaka nagamba nti Buganda esigadde nwevu ddala wadde waliwo akayuguumo ka kolona.
Yagambye nti Obwakabaka bukoze nnyo mu by’obulamu era bugenda kusimiibwa gavumenti gavumenti nti bwe businze okugaba omusaayi mu Central region yonna nakubiriza abantu okugenda mu maaso okugugaba. Era yagambye nti basanidde okwetaba mu kulwanyisa siriimu.
Ekitongole ky’Obwakabaka ekya Buganda Land Board ekivunaanyizibwa ku ttaka lya Buganda lyonna yagambye kirabirira ettaka ky’Enkuluze (mayiro 350); ettaka lya Katikkiro; erya Namasole; erya Nnaalinnya Lubuga; ery’Amasaza n’Amagombolola n’ettaka eddala lyonna ery’Obwakabaka.
“Nga tuyita mu kitongole ekyo, tusobodde okutereeza n’okunyweza obusenze bw’abantu ku ttaka ly’Obwakabaka ebitundu 30%.,” Katikkiro bwe yagambye.
Mu by’obutale, yagambye nti minisitule y’ebyettaka, obulimi, ne bulungibwansi yataddewo Bboodi eya Mmwanyi Terimba Limited kkampuni egenda okugula n’okutunda emmwanyi yatongozebwa era yafunye woofiisi ku Muganzirwazza.
“Minisitule erambudde obutale bwa Kabaka ate n’okusisinkana abakulembeze mu butale obwo mu ngeri ey’okubutumbula ate n’okutambulira awamu. Ekitongole ky’abangawo enkolagala ne kkampuni ya Stabex International nga bano batunda amafuta, ggaasi ate beenyigira ne mukugula emmwanyi mwe bakola kkaawa,” Katikkiro bwe yagambye.
Ate Minisitule y’ebyobulamu eteeseteese emisomo egikwata ku ndwadde ya mukenenya, obutabanguko obusibuka ku kikula ky’abantu, Ssennyiga Kolona saako n’okwekulaakulanya.
“Abantu ab’ebiti eby’enjawulo mu Bwakabaka basomeseddwa era ne bafuna amagezi ag’okutumbulamu embeera zaabwe mu by’obulamu, ebyenfuna n’okulwanirira eddembe lyabwe,” Katikkiro bwe yagambye.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Discussion about this post