Abamu ku basumba b’abalokole naddala abava mu byalo abeegatira mwoyo gwa ggwanga basabye Pulezidenti Museveni n’akulira poliisi Okoth Ochora okuyingira mu misango gye baawabira omusumba Jackson Ssenyonga owa christian Life Church Bwaise.
Kyokka fatilo ezisinga zibuziddwawo ku poliisi olw’o emisango negyesiba.
“Tulowooza nti ye kenyini alina engeri gyakwataganamu nabamu ku ba poliisi okugiremesa. Ssenyonga twesanga nti yava ku mulamwa natandika okutufera, okutwawulayawula, okutiisatiisa , okutuwamba n’okutufunirako ssente okuva ewa Pulezidenti Museveni ngamumatiza mbu ffena tuli wansi we ekitali kituufu,” ekiwandiiko ekyaasomeddwa Robert Neereko eri Bannamawulire ku Mande bwe kyategezezza.
Nagattako nri wadde “tetuli nyo babyabufuzi naye tulowooza nti ebimu ku bikolwa bya Ssenyonga byebimu ku byavaako Pulezidenti Museveni ne NRM okukola obubi mu Buganda kubanga abasumba abamu nabagoberezi babwe baali banyiivu ne bataseesaamu”.
Abasumba bayanjudde emisango musaanvu egivunaanibwa Ssenyonga wabula nga gyesibye nga kuliko.
Abasumba okuva e Luweero nga bagala poliisi enoonyereze ku Ssenyonga okujja obutereevu oba ngayita mu basajja be ssente ezokusembereza empereza ya wealth creation. Ssenyonga yali abasubiza ebyuma ebikamula ebibala era nebakola ebibiina 10 nga buli kibiina kyasonda emitwalo 60 wabula byakoma awo.
Fayiro yeemu era eriko okwemulugunya olwa Ssenyonga okutegeeza bwagenda okuzimbira abasumba kkanisa ezomulembe mu operation bye bye biwempe mu myaka gye 2000 abasumba mwetwafirizibwa ssente kyokka natatukiriza.
Abasumba be Busoga mu Disitulikiti ye Kamuli nabo baggulawo omusango ku poliisi e Kamuli nayo ngerimu ebirumira mu Ssenyonga naddala okubafera mu bya bye bye biwempe.
Abasumba okuva e Lyantonde nabo balina fayiro ku Ssenyonga ku poliisi e Lyantonde.
E Rakai nayo fayiro ku Ssenyonga bagisaayo ku byokubafera.
Omusumba Akampulira yawabira Ssenyonga nti yatiisatiisa okumusanyawo era Akampulira atambulira mu kutya.
Ssenyonga agambibwa nti alina abasumba be yawamba ngakozesa musajjawe Wasswa okuva e Butaleja nabatulugunya nokubasibira e Kasangati ku poliisi
“Ssebo Pulezidenti Museveni ne ssaabapoliisi Me Ochora fayiro ezo zonna twagala zitambule kubanga tulowooza nti nkulu. Bwezinakolwako kinatujjamu okutya nti Ssenyonga atambulira mu luseregende lwa poliisi, abaserikale tabatadde mu ngalo ze” bwe yagambye.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us on info@newsday.co.ug or ,Tel/WhatsApp........0702451828
Discussion about this post