ENTEBE-UGANDA/NEWSDAY: Pasita Aloysious Bugingo ne mukaziwe Suzan Makula basimbiddwa mu kkooti nebavunanibwa ogw’obwenzi.
Bugingo ne Makula emisango bagyeganyi.
Basomeddwa emisango mu kkooti e Ntebe ne babajuliza etteeka elifuga obufumbo erya Marriage Act Cap 251, (50) era nebategezebwa nti okugwa mu mukwano ne Suzan Makula baamenya mateka.
Bugingo ne kabiite we bategezeddwa nti Pasiita okuba nga mufumbo wampeta ne Naluswa ate nga tebayawukanya, bwenzi bwennyini.
Pasita Aloysious Bugingo yakulira ekkanisa ya House of Prayer Ministries International e Bwaise.
Omuwabi wa gavumenti yategezezza kooti nti bwenzi bwennyini Bugingo okwesitula ne mikwano gye ne bagenda nga December 7 omwaka oguwedde Bugingo neyetaba mu kuwasa omukazi Makula so ngate yalina Teddy Naluswa.
Kkooti yabadde ekubirizibwa omulamuzi w’eddaala elisooka Stella Okwong Paculal.
Makula naye yavuniddwa okwenda ku musajja omufumbonategezebwa nti kino kimenya akatundu 42 akafuga etteeka 251 ely’obufumbo.
Bugingo ne Makula emisango bagyeganyi era bombi bawonye okutwalibwa e Kitalya omulamuzi bweyasazeewo okukkiriza beyimirirwe era nabalagira baddemu okweyanjulira kkooti nga February 18, 2022.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Discussion about this post