KAMPALA-UGANDA/NEWSDAY: Akulira bambega mu poliisi mu bitundu by’e Rwizi,SP Topher Gimei gamumyukidde mu kaguli bwabadde awolereza akulira eby’okwerinda by’omusumba wa Life Christian Church Life, Jackson Senyonga mu gw’okubbisa eryanyi n’okulumya omuntu.
Akulira abakuumi ba Ssenyonga, Mw. Israel Wasswa n’abalala basatu bavunaanibwa okukuba n’okunyaga Sam Mukula ssente ze emitwalo 50, essimu, endagamuntu ne kalonda omulala mu bunyazi obugambibwa okukolebwa nga June 8, 2018 ku kkanisa ya Ssenyonga e Bwaise. Era kigambibwa nti wakati mu bunyazi, Mukula baamumenya n’omukono gwa ddyo.
Byonna byali okumpi ne kkanisa ya Christian Life Church.
Mu lipooti ya Gimei, yawolereza Wasswa nti teyeetaba mu musango guno mwebabbira Mukula kubanga yali munda mu kkanisa ng’akuuma omusumba Ssenyonga okutuuka okusaba bwe kwakomekerezebwa ekintu ekiwakanyizibwa oludda oluwaabi nga lugamba nti alipoota yabukuusa.
Bino byonna Gimei yabitegeeza offiisi y’akulira abawaabi ba gavumenti mu lipooti gye yakola ngamuwabula okugya Wasswa ku bavunaanibwa mu musango guno.
Gimei yategeeza mu lipoota eno nti Mukula bwe yatuuka ku kkanisa yafuuka ekitagasa bwe yatandika okuwogana era n’abeera nga tasoboka wadde bagezaako okumukomako.
Oluvannyuma lw’okuwa obujjulizi obwo omuwaabi wa Gavumenti Muwaganya yakubye ebituli mu bujjulizi bwa lipooti Gimei gye yakola okulaga nti yali nkyamu era n’amubuuza oba yakolako ku sitatimenti ku musango guno, Gimei n’amutegeeza nga bwatagikolangako .
Bannamateeka babawawabirwa Boniface Lukwago ne Paul Kajuga bagezezaako okulemesa Muwaganya okukunya Gimei ekitasobose era yamulemeddeko nakuba ebituli mu lipooti.
Oluwaabi yategezeza nti waliwo ekobaane wakati wa Wasswa ne Gimei okutta omusango guno. Omusango guddamu okuwulira nga April,19,2022 ku Lwokubiri.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Discussion about this post