WAKISO-UGANDA/NEWSDAY: FAMIRE erumirizza omusika (Steven Lwasa) okutwala ettaka ly’ekiggya n’ekigendererwa eky’okulitunda. Famire eno ey’omugenzi Paul Lwasa esangibwa ku kyalo Sanga mu ggombolola ye Gombe e Wakiso.
Aba famire nga bakulembeddwa namwandu w’omugenzi Sarah Babumba, Lwasa yatandika emivuyo gye mu 2017 oluvannyuma lwa kitaawe okufa mu 2015. Ettaka liwezaayo yiika 5.
Babumba yagambye nti Lwasa alina omukyala Florence Wawuyo gweyaguza ettaka ku kawumbi kamu n’ekitundu era nga bbo ba famire bwe baakitegeera nebalimusuuza.
Yagambye nti nga bamalirizza okusuuza Wawuyo ettaka, Lwasa yayiiya obukodyo obulala okulaba nga yezza ettaka era ekyaddirira kugenda kwewola ssente mu bbanka nasingayo ettaka lya kitaawe.
“Twatwala ensonga mu kkooti y’amaka e Makindye era omusango negutandika okuwulirwa. Lwasa baamubuuza ebiwandiiko ebikwata ku ttaka mu kkooti nga tabirina.” Babumba bweyayongeddeko.
Yagambye nti kkooti yateeka envumbo ku ttaka era newa ebiragiro obutaddamu kubaako kikolebwako okutuusa ng’omusango guwedKigambibwa de kyokka bewunya okulaba ate nga Lwasa alambuza abantu ettaka.
Babumba yayongeddeko nti bwe baabuuza Lwasa lwaki atunda ettaka ly’ekiggya, yabategeeza nti ayagala kwesasula ssente zeyakozesa okukomyawo omulambo gwa kitaawe okugujja gye yafiira mu America.
Yagambye nti oluvannyuma lwa Samalie Nabwami (naye mukyala wa Lwasa) okufa, Lwasa yafunye oluwenda okutwala ettaka kuba ono yabadde amulemesa buli lwabaako baleese ku ttaka.
BALUMIRIZZA OMUSIKA OKUPANGA ABAATUTTE ABAANA:
Sarah Ndagire omu ku bafamire yategezezza nti abaana abaatwaliddwa poliisi ku Lwokuna baabatwalidde bwerere kuba bano babadde babalabirira nga babagatta wamu n’abokukyalo.
Ndagire yagambye nti muganda wabwe abeera e Bungereza Josephine Kyambadde yatandikawo ekibiina kya Balanced Life okusobola okuyamba ku baana abali mubwetaavu.
Yannyonnyodde nti abaana abaatwaliddwa abamu bamulekwa, abalala bazadde baabwe tebalina busobozobi bubalabirira nga nabamu baana b’okukyalo abakunganira ewamu nebannabwe.
“Tulabirira abaana bangi wano era bazadde baabwe bebabatuwa nga twewunya okugamba nti abaana tubakukusa okubatwala mu America okubajjamu ensigo. Teri muzadde yali yemulugunyizza kukino.” Ndagire bweyayongeddeko.
Ndagire yagambye nti Lwasa yakoze kino ewaka waleme kubaawo muntu aliwo olwo ye (Lwasa) kimwanguyire okutunda ettaka nga tewali amukomako.
Aba famire baategezezza nti ekibiina kya Balanced Life kiruddewo nga kitambuza emirimu gyakyo wabula bebuuza ate abakulu ku disitulikiti ne poliisi okujja mukiseera kino nti tekiri mumateeka.
Twaasobodde okutukirira Lwasa ku whatsapp call ku ssimu ye +17032201163 nategeeza nti eby’okujja abaana ewaka tabimanyiiko nga minisitule y’ekikula ky’abantu ne disitulikiti ye Wakiso bebaakoze ekikwekweto kino.
Bweyabuziddwa ku ttaka lyatundiramu n’ebiggya bya bakadde be, Lwasa yagambye nti talina budde bwogera kwebyo era tayinza kumala budde. Olwamalirizza essimu najijjako.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Discussion about this post