Katikkiro Charles Peter Mayiga talabiseeko mu kusaba ku luttiko e Namirembe okwategekeddwa Ab’olulyo olulangira.
Okusaba kuno okwabaddewwo ku Ssande kwagenderedde okwegayirira Omutonzi okuwonya Kabaka Ronald Mutebi omukosefu mu kiseera kino.
Tekyategerekese oba Katikkiro Mayiga yaabadde ayitiddwa oba nedda.
Okusaba kuno okwakulembeddwa Omulabirizi eyawummula George Ssenyimba ne era kwabaddeko ne diini wa lutikko ye Namirembe Canon Jonathan Kisawuzi.
Mu balala ababaddewo kwe kwabadde Ssabalangira wa Buganda Musanje Kikulwe Godfrey, Nnalinya wa Buganda omukulu Ann Sarah Kagere, Omulangira Rev. Dan Kajumba n’abalala. Nnalinya Beatrice Namikka, Omutaka Walusimbi ow’effumbe, Ssabaganzi Joel Nakibinge nabo tebalutumiddwa mwana.
Nnaalinnya Sarah Kagere mu ddoboozi erikkakkamu yategeezezza Obuganda nti kituufu Beene abadde mukosefu naye kati agenze aba bulungi.
“Akyetaaga essaala kyokka mu kiseera kino embeera ye egenze eterera,” Kagere bwe yagambye.
Nayongerako nti abantu basanidde okweyisa nga Abaganda ab’edda abaasirikiranga ebigambo ebimu ate ebirala ne byogerwako mu ngeri eneekusike.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858