KAMPALA-UGANDA/NEWSDAY:
Okusika omuguwa ku nsonga y’okugoba bodaboda ne taxi mu Kampala kwongedde okulinya enkandago wakati wa Bakansala ba KCCA ne Minisita wa Kampala omubeezi Kabuye Kyofa.
Bakansala bawakanya entekateeka eno ate gavumenti egamba nti buli kimu kiwedde okugoba omugotteko mu kibuga era enetegeka sizakudda mabega. Sipiika was KCCA Zahrah Luyirika yalagidde ebyokugoba abantu bamufunampola biyimirire.
Minisita Kabuye Kyofatogabye akakkasiza nti gavumenti emaliriza entekateeka y’okuleeta bbaasi okukendeza akalipagano k’ebidduka. Kyokka atangaziza nti enkola eno yakukosa Ggombolola ya Kampala Central yokka.
Wabula Bakansala ba KCCA era bannakibiina kya NUP bagamba nti entekateeka eno egendereddwamu kugoba bantu babulijo mu Kampala era yakuletaawo ebbula ly’emirimu mu Ggwanga ekitayamba bannansi.
Kansala Moses Katabu akiikirira Kampala Central ku lukiiko lwa KCCA yagambye nti “tetujja kuwagira biragiro bijonyesa bantu baffe”
Bakansala batuuse nokukissa ku bamu ku bakulu mu KCCA nti baawebwa dda enguzi okuwagira entekateeka eno kyokka basabye Bannakampala okwetegereza abantu bano kubanga bebaze balya mu bannakibuga olukwe.
Nabo abavuzi ba Boda Boda ne takiisi n’okutuusa kati bakyakalambidde nga bwebatajja kugondera ntekateeka ya gavumenti mweyagaliira okubagoba mu kibuga.
Mulukungana lw’abamawuliire lwe baatuuzizza e Makerere ku Lwokusattu, bategezezza nga bwewaliwo bannakyigwanyizi abawabya Omukulembeze w’eggwenga nti entambula ya Boda Boda ne takiisi yevaako akalipagano mu kibuga wakati ekitali kituufu.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Discussion about this post