WAKISO-UGANDA/NEWSDAY: Poliisi e Kajjansi etandise okunoonyereza ku nfa y’omuvubuka Robert Muhumuza eyatomeddwa mmotoka nemuttirawo.
Ab’oluganda lwa Muhumuza balumiriza nti omuntu wabwe okutomerwa emmotoka wakati mu lutalo ku ttaka lyekibira e Kajjansi amaaso balina okugasimba ku mulabbayi.
Kigambibwa nti Robert Muhumuza yali omu ku bakozi ku ttaka ly’ebibira e Kajjansi eriweza yiika 600 mu kiseera kino nga likayanirwa Ephraim Ntanganda ne dokita Apollo Kaggwa.
EKitongole ky’ebibira ekya Uganda National Forestry Authority(NFA) mu 1996 kyawa Kaggwa licence ya myaka 20 okulima emiti ku ttaka lino kyokka mu 2018 Ntaganda yavaayo n’ategeeza ng’ettaka lino bwalilinako ekyapa.
Twagezezaako okufuna Ntaganda abeeko kyayogera ku biriwo kyokka okufuba kwaffe kwagidee butaka.
Okuva mu 2018 kigambibwa nti Ntaganda azze ayungula ebibinja by’abavubuka ne basanyawo ebibira bino kwagamba nti alina ekyapa.
Okusinzira ku Dr.Apollo Kaggwa ng’alina ekibira ku ttaka lino ekiweza yiika 25 ,Ntaganda ezze atiisatiisa ebantu bonna abalina ebibira ku ttaka lino “okubasomessa essomo ku bukamu bwabwe”.
Dr. Kaggwa yagambye nti mu 2018 Ntaganda yamulumba n’amusaba okutegeragana naye amuliyirile ave ku ttaka lino wabula bweyamusaba ensimbu obuwumbi 12.5 teyadda kyeyaddamu okulaba byebibinja by’abavubuka ebijja ne bitema emiti.
Dr. Kaggwa agamba nti mu December w’omwaka oguwedde Ntaganda yatuukirira abamu ku baana be ng’ayagala baddemu bakkanye ave ku ttaka lino bw eyasaba ensimbi zirinnye okuva ku buuwmbi 12.5 okudda mu buwumbi 25 enkeera waalwo mbu Ntaganda yasindika kibinja ky’abayaaye ekibira nebakissa kutaka.
Ekyapa ekyogerwako kiri mumannya ga Lala Apertments Limited. Kkampuni eno egambibwa okubeera mu mannya agafanagana nago aga mukyala wa Ntaganda ne muwalawe.
Oluvannyuma lw’okufa kwa Muhumuza, poliisi e Kajjansi erina abantu mukaaga beyakutte okuli n’omu bali ku lusegere lwa Ntaganda. Ye Ssekyanzi.
Muhumuza wakubiri ku nabadde abakozi ku ttaka lino. Teopista Nabukenya NAye yafa mungeri ekyaliko akabuuza.
Ku Lwomukaaga, kigambibwa nti omugagga yaggalirwa e Kajjansi okumala akaseera era nabuzibwa ku biriwo.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us on info@newsday.co.ug or ,Tel/WhatsApp........0702451828
Discussion about this post