Omumyuka wa sipiika wa palimenti Thomas Tayebwa yebazizza University ya Kampala International e Kansanga olw’omulimu gwe bakola okugunyunjala n’okubangula bannayuganda mu masomo agenjawulo okusingira ddala mu byamateeka ,ebyeddagala n’obujanjaabi.
Abayizi 2253 bebqtikiddwa ku tendekero lya Kampala International University e Kansanga mu matikira ag’omulundi gwa 26 nga gwetabiddwako ebikonge bingi ebyenjawulo nga omugenyi omukulu abadde sipiika wa palimenti Anitah Among nga akikiriddwa omumyukawe Thomas Tayebwa.
Omumyuka wa chancellor wa University eno Professor Mouhamad Mpezamihigo asabye government okubakwasizaako nadala mu bya Science n’eddwaliro lyabwe okusobola okubangula obulungi abayizi babwe okufuluma n’obukugu obweyagisa mu nsi yona nga yebazizza bona ababayambako mu kubangula abayizi baabwe.
Amyuka sipiika Thomas Tayebwa yebazizza University ya Kampala International University olw’ediimu eddene lyekola mu kusomesa n’okubangula bannayuganda era nategeeza nga government bwegenda okukola ennyo mu kubayambako n’okubakwatizaako.
Oluvanyuma asomye obubaka bwa sipiika Anitah Among mwayozayozerezza abakuliira University eno wamu nabayizi olw’okukuuma omutiindo era nategeeza nga bwagenda okukola kyona ekisoboka okulaba nga babakwatizaako mu buli ngeri nga naye amateeka yagasomera wano.
Abayizi bano bakuguse mu misomo okuli Engineering ,Computer, amateeka, ebyamawulire,obusawo ,obusomesa,business n’ebirala bingi nga mubano mubaddemu n’ezudde ku bulwadde bw’omusujja ekigenda okuyamba eggwanga nga ono y’omu ku bawereddwa ebirabo.
Mubatikiddwa mwemubadde n’omugagga Muhammad Kamoga nga ono afunye Digree mu mateeka era nga ono ategezezza nga bwasomye bwebigenda okuyamba bannayuganda bona okubalwanirira mu by’amateeka era nanyonyola byagenda okukoleera eggwanga.
Twogeddeko nabatikiddwa abalala wamu n’abazadde n’abenganda zaabwe nga basanyufu olw’okukuba emisomo olukku mu mutwe.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Discussion about this post