By Gideon Kisembo
Wakiso. Embaga esasise oluvanyuma lw’omussajja okubulawo ng’agenda okugattibwa ne kabiite we mu bitundu bye Wakiso olwaleero.
Omussajja ono, Dr Patrick Mbusa Kabagambe yabuzeewo eggulo ku Lwokutaano n’emmotoka egambibwa okuba ey’omukazi UBH 905X.
Ekyerarikiriza nti essimu ze zonna 0772844871, 0702683911, 0726003296 wetuwandikidde eggulire lino nga tezinaddako.
Omugole omukazi Kobusingye Christabella wakati mu kusoberwa, addukidde ku poliisi ye Kasangati nassaayo okwemulugunya kwe ku fayilo SD REF 22/10/04/2021.
“Ab’oluganda n’ebannadiini bonna basobeddwa. Batunula ttaayo wakati mu kulindirira omussajja atalabikako,”Kobusingye bwe yategezezza Poliisi mu sitatimenti.
Nasaba Poliisi okuyambako okuzuula bba yonna gyali.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire ategezezza nti Poliisi eri ku muyiggo okuzuula Mbusa.
“Ab’oluganda lw’omusajja batutukiridde era tutandise okunonyereza,” bwe yangambye.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Discussion about this post