Luwero. Munnabyabufuzi Hajji Abdul Nadduli alumbye Pulezident Museveni olw’okukolokota eyali minista w’eby’ettaka, Aida Nantaba nti emirimu yagikozesanga bandabe.
Museveni bwe yabadde mu lusirika n’ababaka abalonde aba NRM e Kyankwanzi wiiki ewedde yavumiridde Nantaba olw’akabampane gwe yayolesa bwe yali nga minisita w’ebyettaka.
Nadduli agambye nti Nantaba yetaaga kutenderezebwa olw’omulimu omunene gwe yakola okulemesa ebibinja by’abagwiira abaava mu mawanga amalala okwesenza ku ttaka mu Buganda nti singa kino tekyakolebwa, Abaganda bangi bandibadde bafuuse mmomboze omwaabwe.
“Baali bagezaako okutusengula. Minisita bwayogera kwabo, tegaba malala,” Nadduli bwe yagambye.
Yagambye nti Abanyarwanda bonna abaagobwa mu Tanzania baasombolwa nebayibwa mu Uganda era kino kyekyavaako entabwe z’ettaka e Mubende.
“Okwogera kwebyo g’emalala?” Nadduli bwe yebuzizza ng’ayogerera ku mukutu gwa TMO Online Television.
Yagambye nti waliwo abasajja abesenza e Bugerere era Banansangwa abaaliyo, kati babundabunda.
Nagattako nti Nantaba buli lwe yayogeranga ku bizibu by’ettaka kwali kunyikkiza enjiri y’ebizibu byaalyo.
“Olwo ye Muzeeyi bwagenda ayogera ku by’emyooga, tugambe nti naye abeera akola bandabe? Nedda, aba ayongera kunyikkiza abantu basobole okutegeera,” Nadduli bwe yagambye.
Olwo yasumuludde obusagwa nagamba nti nkola yakika ki effumbekeza abantu ab’eggwanga erimu mu bitundu gyebatazaalwa era nga bebaweebwa emirimu emisava bokka.
“Abantu ab’eggwanga erimu abefuze emirimu mu kiseera kino kikoleddwa silwabuzobozi bwabwe, wabula lwakuba waliwo ababasika ku mukokno,” NAdduli bwe yagambye.
Yebuzizza nti Abaganda okuva lwe batandaka okusoma bakola wa? Babalinyeko ekigere, baleeta baala.
Nadduli yawadde Museveni amagezi nti okukolokota Nantaba kimalamu abalala amaanyi. Nawa amagezi nti Nantaba yetaaga kuzzamu maanyi si kumuvumirira
Mu ngeri y’emu kyokka nga teyalambuludde, yagambye nti Museveni akkirize aggye omukono mu ttaka ly’Abaganda alibalekere.
Nalabula nti bonna abaguze ettaka ly’Abaganda mu mankweetu, ekiseera kijja kutuuka balileke nga Abayisiraayi bwe badda ewabwe okuva e Misiri nga tebalina kyebatutte.
“Tewali alowooza nti alifa kyokka bwe tufa tewali kyetugenda nakyo,” Nadduli bwe yagambye.
Yalabudde nti okumalawo omulugube kulina kukolebwa Pulezidenti Museveni yennyini.
“Okwogererea ku buzindaalo tekiyamba. Pulezident asanidde akwate bukwasi abeffujjo olwo nalwo luggwe,” Nadduli bwe yagambye.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Discussion about this post