KAMPALA-UGANDA/NEWSDAY: Pulezident Yoweri Museveni alagidde bonna ababadde bamubika oba okumulanga bwaali omulwadde omuyi bakwatibwe.
Ekikwekweto ekiyigga bano kitandikiddewo ab’ekitongole ekilondoola eby’empulizaganya ekya Uganda Communications Commission (UCC) nga tekigenda kutaliza n’ababadde batambuza obubaka obwo eri banabwe.
Museveni yayise mu kiwandiiko eri Bannamawulire ekifulumiziddwa munnamawulire we, Lynda Nabusaayi ku Lwokusattu July 7, 2021. NAbusaayi yategezezza nti mukama we takyalabika nnyo mu bantu kubanga akolera ku mitambagano mu mbeera eriwo ey’okwewala Covid19.
“Pulezidenti emirimu agikola ayita mu mawulire n’emitimbagano,” Nabusaayi bwe yagambye.
Nagattako; “abo bonna ababadde basasanya amawulire nti mulwadde oba mufu, okugezaako okuletaawo okutya bamenyi b’amateeka era ekitongole kya UCC kisanidde okubalondoola mu nkozesa embi ey’emikutu gimugatta bantu.”
Nagamba nti Pulezidenti ali katebule, emirimu agikolera ddala bulungi era akyagenda nti ku Lwokuna agenda kuggulawo olukungana olwokukuza olunaku lwa African Integration Day mu kitiibwa kye nga President wa Uganda.
Wabaddewo akabugutano ku mikutu gya Facebook, Whatsapp, tweeter ne Instagram ng’abantu babika Pulezidenti Museveni. Byatandika wiiki bbiri emabega bwe babityebeka nti yali addusiddwa mu Girimaani nga biwala ttaka oluvanyuma lw’okukwatibwa Covid19 kyokka nga June 27 yagenda e Munyonyo naggulawo olukungaana lwa World Health Summit.
Ku Lwokubiri yagenze e Matugga n’omumyuka wa Pulezidenti w’e Kenya, William Ruto ne bagulawo ekkolero ly’eddagala.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858