Bya Mwanje Mutesasira
KAMPALA-UGANDA/NEWSDAY: Kkooti ekomeredde omusumaali ogusembayo mu sanduuke yowa NUP e Lubaga abadde alwana okulemesa owa NRM yamuwangudde mu kkooti kyokka najulira.
Egobye okusaba kwokujulirakwe ng’omulamuzi agamba nti tekulina makulu namulagira okuliyirira Wassajja Eddie Ggulu owa NRM ssente zonna zaasasanyizza.
Ggulu kkooti yamulangiridde ku buwanguzi bwa kansala akirira omuluka gw e Kawaala ku divizoni e Lubaga oluvanyuma lwokuwuliriza obujulizi obulaga nti Munna NUP Henry Kalyango obuwanguuzi yanyakula bunyakule ku Ggulu.
Akakiiko kebyokulonda kaalangirira Kalyango mu kulonda okuwedde wabula kyakolebwa mu nsobi kubanga obumu ku bululu bwa Ggulu ku ssomero Lya update p/s bwalekebwa ebbali.
Wabula Kalyango y’abadde ajulidde kyokka kkooti negoba okujulirwakwe.
Eno yentikko yolutalo lwa NUP ne NRM mu Lubaga eyokusatu nga zonna omulangira Wassajja Eddie Ggulu aziwuuta buva.
Kyokka Wasajja yategeezezza nga yakawangula ogwokusatu nti ayagala akakiiko kebyokulonda kamugazetinge mu bwangu ate alayizibwe mbagirawo.
“Nawangula dda era simanyi lwaki ebyokunteeka mu kyapa kya Gavumenti nokundayiza byekunya nga bainga abalina kye babala. Ekirungi kkooti eyongedde okulaga amazima Kati njagala bandayize” Wasajja bwe yagambye.
Bino byonna okubaawo ngokunaganya nembuutu bigenda mu maaso ku kkooti e mengo ne Kawaala.
Wassajja ngayita mu looyawe Muzamiru Mujulizi yalumiriza nti waaliwo okusazaamu obumu ku bululu bwe oba okubukyusakyusa naddala ku kifo kya Up To Date P/S e Kawaala ekyayamba Kalyango nakakiiko k’eby’okulonda okulangirira Kalyango wadde ng’omugatte omutuufu gulaga nti Wassajja Eddie Ggulu yeeyawangula era yasaba kkooti emulangirire ku buwanguuzi omulamuzi ow’eddaala erisooka Nansambu Esther Rebecca kyeyakiriza.
Do you want to share a story, comment or opinion regarding this story or others, Email us at newsdayuganda@gmail.com Tel/WhatsApp........0726054858
Discussion about this post